Ezekiel 45:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'omuzigo ogugerekeddwa omupimire mu bati gunaabanga kyakkumi kya bati okuva ku buli kori, kori emu ewezaamu bati kkumi oba komeri emu kubanga bati kkumi ze ziweza komeri emu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omugabo ogw’amafuta, ogupimibbwa n’ensuwa, guliba lita bbiri n’obutundu bubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'omugabo ogw'amafuta ogulagirwa, ogw'oku nsuwa ey'amafuta, gunaabanga kitundu kya kkumi eky'ensuwa, ekiggibwa ku kooli, ze nsuwa kkumi ye komeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku muzigo ogw'emizayiti, munaawangayo kimu eky'ekkumi ekya baati ku buli koori. Koori kyekimu ne homeri, nayo ebaamu baati kkumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'omugabo ogw'amafuta ogulagirwa, ogw'oku nsuwa ey'amafuta, gunaabanga kitundu kya kkumi eky'ensuwa, ekiggibwa ku kooli; ze nsuwa kkumi, ye komeri; kubanga ensuwa kkumi ye komeri: