Ezekiel 45:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era endiga emu ejja kuggyibwanga ku buli ggana ly'endiga ebikumi bibiri okuva mu malundiro ga Yisirayeli. Zino ze ziweerezebwa olw'ekitone eky'obuwunga, ekitambiro ekyokye n'ebitambiro eby'okussa ekimu olw'okuddaabiriza olw'abantu, y'agamba Omukama Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era muliwaayo endiga emu okuva mu kisibo ekimu, buli kisibo nga kirimu endiga ebikumi bibiri, ezirundibwa ku malundiro amagimu aga Isirayiri. Ebyo bye biriba ebiweebwayo eby’obutta n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, okubatangiriranga, bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwana gw'endiga ogumu ogw'omu kisibo, oguggibwa ku bikumi bibiri (200), ku malundiro amagimu aga Isiraeri; olw'ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, okubatangiriranga, bw'ayogera Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Endiga ento emu, ye eneggyibwanga mu bikumi ebibiri, ku malundiro amagimu aga Yisirayeli. Munaawangayo ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, era n'ekiweebwayo olw'emirembe, ne mwesabira ekisonyiwo eky'ebibi byammwe. Nze Mukama Afugabyonna, Nze nkiragidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'omwana gw'endiga ogumu ogw'omu kisibo, oguggibwa ku bikumi bibiri, ku malundiro amagimu aga Isiraeri; olw'ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, okubatangiriranga, bw'ayogera Mukama Katonda.