Ezekiel 45:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulangira anaateekwanga okuleeta ebitone eby'ekitambiro ekyokye, n'ebitone eby'obuwunga, n'ebitone eby'okuyiwa, n'ebitambiro eby'okussa ekimu ku mbaga enkulu, ku lw'Okuboneka kw'Omwezi, ku Sabbaato ne ku mbaga enkulu zonna eziragiddwa ez'ennyumba ya Yisirayeli. Ajja kuleetanga ebitone olw'ekibi n'olw'ekitone eky'obuwunga n'ekitambiro eky'okussa ekimu olw'okuddaabiriza olw'ennyumba ya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulangira anavunaanyizibwanga okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo eby’okunywa ku mbaga ez’emyezi egyakaboneka n’eza Ssabbiiti, ne ku mbaga zonna ezaalagirwa ez’ennyumba ya Isirayiri; y’anaagabulanga ebiweebwayo olw’ebibi, n’ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, okutangiriranga ennyumba ya Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omulangira ye anaawanga ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo eby'obutta n'ebiweebwayo eby'okunywa ku mbaga ne ku myezi egyakaboneka ne ku Ssabbiiti, ku mbaga zonna ezaalagirwa ez'ennyumba ya Isiraeri: ye anaategekanga ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, okutangiriranga ennyumba ya Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kabaka oyo ye anaawanga ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ku mbaga ez'okuboneka kw'omwezi, ne ku Sabbaato, ne ku nnaku enkulu endala, ne ku mbaga zonna ezaalagirwa, ez'Eggwanga lya Yisirayeli. Ye anaategekanga ekiweebwayo olw'ekibi, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, n'ebiweebwayo olw'okutabagana, okusabira ab'Eggwanga lya Yisirayeli ekisonyiwo ky'ebibi byabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omulangira ye anaawanga ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo eby'obutta n'ebiweebwayo ebyokunywa ku mbaga ne ku myezi egyakaboneka ne ku ssabbiiti, ku mbaga zonna ezaalagirwa ez'ennyumba ya Isiraeri: ye anaategekanga ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, okutangiriranga ennyumba ya Isiraeri.