Ezekiel 45:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku ekyo, ettaka lya mikono bitaano ku bitaano liriba lya Kitukuvu n'ekibangirizi ekyereere kya mikono ataano obugazi okwetooloola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku ttaka eryo kunaasalibwangako ekifo eky’Awatukuvu ekyenkana mita ebikumi bibiri mu nkaaga buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi, n’oluggya okukyetooloola luliba lwa mita amakumi abiri mu mukaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku gwo kuliggibwako olw'ekifo ekitukuvu bitaano (500) obuwanvu n'ebitaano (500) obugazi okwenkanankana enjuyi zonna, n'emikono ataano (50) olw'embuga yaako enjuyi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku kyo, muliggyako ekibangirizi eky'okuzimbamu Ekifo Ekitukuvu, kya mita ebikumi bibiri mu ataano okwenkanankana mu njuyi zonna, obuwanvu n'obugazi, n'oluggya lwakyo, lwa mita amakumi abiri mu ttaano ku njuyi zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku gwo kuliggibwako olw'ekifo ekitukuvu ebikumi bitaano obuwanvu n'ebikumi bitaano obugazi okwenkanankana enjuyi zonna: n'emikono amakumi ataano olw'embuga yaako enjuyi zonna.