Ezekiel 45:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'otyo bw'onookolanga ne ku lunaku olwomusanvu olw'omwezi olw'okubeera buli yenna asobya mu kuwubwa oba mu butamanya; bwe mutyo ne muddaabirizanga olw'Ekiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mutyo bwe munaakolanga ku lunaku olw’omusanvu olw’omwezi ku lw’omuntu yenna aliba ayonoonye mu butali bugenderevu n’oyo aliba ayonoonye olw’obutamanya; bwe mutyo bwe munaatangiriranga eyeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era okolanga bw'otyo ku lunaku olw'omwezi olw'omusanvu olwa buli muntu asobya n'oyo atalina magezi, bwe mutyo bwe munaatangiriranga Yeekaalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'omusanvu olw'omwezi, onookolanga bw'otyo olwa buli omu akoze ekibi nga tagenderedde, oba nga kivudde mu butamanya. Bwe mutyo bwe munaakuumanga Essinzizo nga ttukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era okolanga bw'otyo ku lunaku olw'omwezi olw'omusanvu olwa buli muntu asobya n'oyo atalina magezi: bwe mutyo bwe munaatangiriranga ennyumba.