Ezekiel 45:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo omulangira anaaleetanga ente ennume olw'ekitambiro olw'ekibi ku lulwe ne ku lw'abantu bonna mu ggwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo omulangira alireeta ku lulwe ne ku lw’abantu bonna ab’omu nsi ente ennume nga nto okuba ekiweebwayo olw’ekibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olwo omulangira yeetegekerenga yennyini n'abantu bonna ab'omu nsi ente okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'embaga eyo olusooka, kabaka anaategekanga ku lulwe ne ku lw'abantu bonna, ente ebe ekiweebwayo olw'ekibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunakn olwo omulangira yeetegekerenga yennyini n'abantu bonna ab'omu nsi ente okuba ekiweebwayo olw'ekibi.