Ezekiel 45:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate buli lunaku mu nnaku omusanvu ez'embaga anaaleetanga ente ennume musanvu n'endiga ennume musanvu ezitaliiko kamogo olw'ekitambiro ekyokye, ate n'embuzi ennume olw'ekitambiro olw'ekibi buli lunaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli lunaku mu nnaku omusanvu ez’embaga, anaawangayo ente ennume nga nto musanvu n’endiga ennume musanvu nga teziriiko kamogo, okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mu nnaku omusanvu ez'embaga ategekenga ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, ente musanvu n'endiga ennume musanvu ezitaliiko bulema, buli lunaku okumalako ennaku omusanvu; n'embuzi ennume buli lunaku okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mu nnaku omusanvu ez'embaga, buli lunaku anaawangayo eri Mukama ente musanvu, n'endiga ennume musanvu ezitaliiko kamogo, ne zookebwa nga nnamba. Era buli lunaku anaawangayo embuzi ennume, ebe ekiweebwayo olw'ebibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)