Ezekiel 45:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate olw'ekitone eky'obuwunga anaaleetanga efa ku buli nte nnume n'efa ku buli ndiga nnume, n'assaako ne yini y'omuzigo ku buli efa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anaagabanga n’ekiweebwayo eky’obutta, kilo mwenda ku lwa buli nte nto ennume, n’efa ku lwa buli ndiga ennume, ne lita nnya ez’amafuta buli efa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ategekenga ekiweebwayo eky'obutta, efa ku buli nte, ne efa ku buli ndiga ennume, ne efa ku buli yini ey'amafuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alitegekerako n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, efa emu ku buli nte ne ku buli ndiga ennume, ne yini emu ey'omuzigo gw'emizayiti ku buli efa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ategekenga ekiweebwayo eky'obutta, efa ya nte, ne efa ya ndiga ennume, na buli efa yini ey'amafuta.