Ezekiel 45:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ku mbaga ebeerawo mu mwezi ogwomusanvu ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano, anaakolanga kye kimu okumala ennaku musanvu, ng'aleeta ebitone olw'ekitambiro olw'ekibi n'olw'ekitambiro ekyokye n'ekitone eky'obuwunga, era n'omuzigo.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Mu mwezi ogw’omusanvu, ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi, anaateekwa okugabanga ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’obutta n’amafuta okumala ennaku musanvu ez’embaga.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwezi ogw'omusanvu ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ettaano (15) mu mbaga akolenga bw'atyo okumala ennaku omusanvu; ng'ekiweebwayo olw'ekibi bwe kiri, n'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'obutta, n'amafuta nga bwe gali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ku mbaga ey'Ensiisira, etandika ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu, kabaka era anaakolanga bw'atyo, anaawangayo buli lunaku mu nnaku omusanvu, ekiweebwayo olw'ekibi, n'ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'eby'omuzigo ogw'emizayiti.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwezi ogw'omusanvu ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ettaano mu mbaga akolenga bw'atyo okumala ennaku omusanvu; ng'ekiweebwayo olw'ekibi bwe kiri, n'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'obutta, n'amafuta nga bwe gali.