Ezekiel 45:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe buliba obutaka obutukuvu obwa bakabona, abo abaweereza mu Kitukuvu, abasembera okuweereza Omukama, kye kiriba ekifo ky'amayumba gaabwe era ekifo ekitukuvu eky'Ekitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo kye kiriba ekifo ekitukuvu ekya bakabona abaweereza mu watukuvu, era abasemberera Mukama okumuweereza. Kye kiriba ekifo eky’ennyumba zaabwe n’ekigo ekitukuvu eky’Awatukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ogwo gwe mugabo gw'ensi omutukuvu; guliba gwa bakabona, abaweereza ab'omu watukuvu, abasembera okuweereza Mukama; era kiriba kifo kya nnyumba zaabwe, era ekifo ekitukuvu eky'awatukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kiriba kitundu kitukuvu, nga kya bakabona abaweereza Mukama mu Kifo Ekitukuvu. Kiribaamu ennyumba zaabwe, era n'ekifo ekitukuvu eky'Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ogwo gwe mugabo gw'ensi omutukuvu; guliba gwa bakabona, abaweereza ab'omu watukuvu, abasembera okuweereza Mukama; era kiriba kifo kya nnyumba zaabwe, era ekifo ekitukuvu eky'awatukuvu.