Ezekiel 45:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ekibuga munaakiwa ekibanja kyakyo kya mikono enkumi ttaano obugazi n'emitwalo ebiri mu enkumi ttaano obuwanvu; nga kisalagana n'ekitundu ekitukuvu; kiriba kya nnyumba yonna eya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Muteekeddwa okuwa ekibuga obutaka bwakyo: obugazi mayilo emu n’ekitundu, n’obuwanvu mayilo musanvu okuliraana ekifo eky’omugabo omutukuvu, era kiriba kya nnyumba yonna eya Isirayiri.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era muteekangawo obutaka obw'ekibuga, enkumi ttaano (5,000) obugazi n'emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000) obuwanvu, okuliraana ekitone eky'omugabo omutukuvu, buliba bwa nnyumba yonna eya Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuliraana n'ekifo ekyo ekitukuvu, muliteekawo ekitundu ekirala kya kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu obuwanvu, ne kilomita bbiri n'ekitundu obugazi, zibe za kibuga eky'Eggwanga lyonna erya Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era muteekangawo obutaka obw'ekibuga, enkumi ttaano obugazi n'obukumi bubiri mu enkumi ttaano obuwanvu, okuliraana ekitone eky'omugabo omutukuvu: buliba bwa nnyumba yonna eya Isiraeri.