Ezekiel 45:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omulangira wa kufuna ekibanja ekiri ku njuyi zombi ez'ekitundu ekitukuvu n'ekibanja ky'ekibuga, nga kisalagana n'ekitundu ekitukuvu era n'ekibanja ky'ekibuga. Kirigaziwanga kidda ebugwanjuba ku luuyi olw'ebugwanjuba, ate n'ebuvanjuba ku luuyi olw'ebuvanjuba, nga kigenda kikiiba ku nsalo z'ebitundu by'ebika ebugwanjuba n'ebuvanjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omulangira alifuna ettaka ku nsalo eri wakati w’omugabo omutukuvu n’ettaka ery’ekibuga, ku luuyi olw’Ebugwanjuba ne ku luuyi olw’ebuvanjuba, mu buwanvu nga buva Ebugwanjuba ne butuuka Ebuvanjuba okuliraana n’omugabo ogw’ekika ekimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era buli ekiriba eky'omulangira kiriba ku mabbali g'omugabo omutukuvu n'obutaka obw'ekibuga eruuyi n'eruuyi, mu maaso g'ekitone ekitukuvu ne mu maaso g'obutaka obw'ekibuga, ku luuyi olw'ebugwanjuba ebugwanjuba, ne ku luuyi olw'ebuvanjuba ebuvanjuba, n'obuwanvu nga kyenkana n'omugabo ogumu ku migabo okuva ku nsalo ey'ebugwanjuba okutuuka ku nsalo ey'ebuvanjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Kabaka aliweebwa ettaka eriri mu mbiriizi z'ettaka ery'ekitundu ekitukuvu n'ez'ettaka ery'ekibuga, ku njuyi zombi ebugwanjuba n'ebuvanjuba, ng'obuwanvu bwalyo bwenkanankana n'obuwanvu bw'ogumu ku migabo gy'Ebika, era nga liva ku nsalo y'ebugwanjuba ey'ensi Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli ekiriba eky'omulangira kiriba ku mabbali g'omugabo omutukuvu n'obutaka obw'ekibuga eruuyi n'eruuyi, mu maaso g'ekitone ekitukuvu ne mu maaso g'obutaka obw'ekibuga, ku luuyi olw'ebugwanjuba ebugwanjuba, ne ku luuyi olw'ebuvanjuba ebuvanjuba: n'obuwanvu nga kyenkana n'omugabo ogumu ku migabo okuva ku nsalo ey'ebugwanjuba okutuuka ku nsalo ey'ebuvanjuba.