Ezekiel 45:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibanja ekyo kye kiriba obutaka bwe mu Yisirayeli; abalangira bange tebaliddayo kunyigiriza bantu bange, wabula balireka ennyumba ya Yisirayeli abantu ne baba n'ettaka nga bagoberera ebika byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ettaka eryo lye linaabanga omugabo gwe mu Isirayiri so n’abalangira tebaajoogenga bantu bange naye balikkiriza ennyumba ya Isirayiri okufuna omugabo mu nsi ng’ebika byabwe bwe biri.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buliba butaka gy'ali mu nsi mu Isiraeri, so n'abalangira tebalijooga nate abantu bange; naye baliwa ennyumba ya Isiraeri ensi ng'ebika byabwe bwe biri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ogwo gwe guliba omugabo gw'ettaka ogwa Kabaka mu nsi ya Yisirayeli, bakabaka balemenga kwongera kunyigiriza bantu bange, naye baleke ab'Eggwanga lya Yisirayeli okugabana ensi eyo mu bika byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buliba butaka gy'ali mu nsi mu Isiraeri: so n'abalangira tebalijooga nate abantu bange; naye baliwa ennyumba ya Isiraeri ensi ng'ebika byabwe bwe biri.