Ezekiel 45:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Abalangira ba Yisirayeli, ekyo kimala. Mulekere awo obukambwe n'okunyaga; mukole ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu, mulekere awo okwaya abantu bange, Omukama Katonda y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Kye mukoze kimala, mmwe abalangira ba Isirayiri! Temukuluusanya abantu bange n’okubanyigiriza, mutuukirize eby’ensonga era ebituufu. Temubagobaganya, bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kibamale, ayi abalangira ba Isiraeri, muggyeewo ekyejo n'okunyaga, mutuukirize omusango n'eby'ensonga; abantu bange mubaggyeeko obukamuzi bwammwe, bw'ayogera Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna n'agamba nti: “Mmwe abafuzi mu Yisirayeli, mulekere awo obukambwe n'obunyazi, mukole eby'amazima n'obwenkanya. Mukomye okugobanga abantu bange mu bibanja byabwe. Nze Mukama Afugabyonna nze mbagamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kibamale, ai abalangira ba Isiraeri: muggyeewo ekyejo n'okunyaga, mutuukirize omusango n'eby'ensonga; abantu bange mu baggyeeko obukamuzi bwammwe, bw'ayogera Mukama Katonda.