Ezekiel 46:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Omulyango gw'oluggya olw'omunda ogutunudde ebuvanjuba, gunaabeeranga muggale ennaku omukaaga ez'okukola, naye ku lwa Sabbaato gunaggulibwangawo, era ne ku lunaku olw'Okuboneka kw'Omwezi gunaggulibwangawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Omulyango ogw’oluggya olw’omunda olutunuulira Ebuvanjuba gunaabanga muggale ennaku mukaaga ezikolerwamu, naye ku lunaku olwa Ssabbiiti ne ku lunaku olw’omwezi ogwakaboneka gunaggulwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Omulyango ogw'oluggya olw'omunda ogutunuudde ebuvanjuba gunaaggalibwanga okumala ennaku omukaaga ezikolerwamu emirimu, naye ku lunaku olwa Ssabbiiti banaaguggulanga ne ku lunaku olw'omwezi ogwakaboneka banaaguggulanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna, agamba nti: “Omulyango ogw'oluggya olwomunda, ogutunuulira ebuvanjuba, gunaabanga muggale mu nnaku omukaaga ezikolerwamu emirimu, naye gunaggulwangawo ku lunaku lwa Sabbaato, ne ku lunaku lw'Embaga y'okuboneka kw'omwezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Omulyango ogw'oluggya olw'omunda ogutunuulira obuvanjuba banaaguggalirangawo ennaku omukaaga ezikolerwamu omulimu; naye ku lunaku olwa ssabbiiti banaaguggulangawo, ne ku lunaku olw'omwezi ogwakaboneka banaaguggulangawo.