Ezekiel 46:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ku nnaku ez'embaga n'ezo enkulu eziragiddwa, ekitone eky'obuwunga kya kubanga ky'efa emu ku buli nte nte nnume, n'efa emu ku buli ndiga nnume, ate ku buli kaliga obuwunga bunaabanga ng'oli bw'aliba asobodde, ssaako yini y'omuzigo ku buli efa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku mbaga ne mu biseera ebyalondebwa bino bye binaabanga ebiweebwayo: ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kya kilo kkumi na mukaaga n’ente ennume emu ne kilo kkumi na mukaaga ez’emmere ey’empeke n’endiga ennume emu, awamu n’abaana b’endiga ng’omuntu bw’anaayinzanga, ng’okwo kw’otadde lita nnya ez’amafuta eza buli efa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ne mu mbaga ne ku nnaku enkulu ekiweebwayo eky'obutta kinaabanga efa ku nte ne efa ku ndiga ennume ne ku baana b'endiga nga bw'anaayinzanga okuwa, na buli efa yini ya mafuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku mbaga ezaalagirwa, ne ku nnaku enkulu, ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke binaabanga efa eweerwayo ku buli nte, ne ku buli ndiga ennume. Ku ndiga ento, omuntu anaawangayo nga bw'ayagala okuwa. Buli efa ey'eŋŋaano, eneeweerwangako yini y'omuzigo ogw'emizayiti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu mbaga ne ku nnaku enkulu ekiweebwayo eky'obutta kinaabanga efa ku nte ne efa ku ndiga ennume ne ku b'endiga nga bw'anaayinzanga okuwa, na buli efa yini ya mafuta.