Ezekiel 46:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulangira bw'anaaleetanga ekitone olw'ekitambiro ekyeyagalire eri Omukama, kibeere kitambiro ekyokye oba eky'okussa ekimu, omulyango ogutunudde ebuvanjuba gunaamuggulirwangawo. Aliweerezanga ekitambiro kye ekyokye oba eky'okussa ekimu nga bw'akola ku Sabbaato. Olwo n'afuluma, bw'alimalanga okufuluma, omulyango ne guggalibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Awo omulangira bw’anaateekateekanga ekyo ky’asiimye ku bubwe n’akiwaayo eri Mukama, ng’ekiweebwayo ekyokebwa oba ng’ebiweebwayo olw’emirembe, anaaggulirwangawo omulyango ogutunuulira obuvanjuba, era nnaawangayo ekiweebwayo kye ekyokebwa oba ekiweebwayo kye olw’emirembe nga bw’akola ku lunaku olwa Ssabbiiti. N’oluvannyuma ng’amaze anaafulumanga, omulyango ne guggalwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omulangira bw'anaategekanga ekyo ky'anaawangayo ku bubwe, ekiweebwayo ekyokebwa oba ebiweebwayo olw'emirembe okuba ekiweebwayo ku bubwe eri Mukama, banaamuggulirangawo omulyango ogutunuulira ebuvanjuba, era anaategekanga ekikye ekiweebwayo ekyokebwa n'ebibye by'awaayo ku bubwe nga bw'akola ku lunaku olwa Ssabbiiti, kale afulumenga; awo ng'amaze okufuluma, banaggalangawo omulyango.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kabaka bw'anaabangako ky'ategese okuwaayo gye ndi Nze Mukama, nga yeeyagalidde, ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba oba ekiweebwayo olw'okutabagana, banaamuggulirangawo omulyango gw'oluggya olwomunda ogutunudde ebuvanjuba. Anaategekanga ekiweebwayo kye ekyokebwa nga kiramba, n'ebiweebwayo by'awaayo olw'okutabagana, nga bw'akola ku lunaku olwa Sabbaato. Ebyo nga biwedde, anaafulumanga ebweru, ne baggalawo omulyango ng'amaze okufuluma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omulangira bw'anaategekanga ekyo ky'anaawangayo ku bubwe, ekiweebwayo ekyokebwa oba ebiweebwayo olw'emirembe okuba ekiweebwayo ku bubwe eri Mukama, banaamuggulirangawo omulyango ogutunuulira obuvanjuba, era anaategekanga ekikye ekiweebwayo ekyokebwa n'ebibye by'awaayo ku bubwe nga bw'akola ku lunaku olwa ssabbiiti: kale afulumenga; awo ng'amaze okufuluma, banaggalangawo omulyango.