Ezekiel 46:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Buli lunaku ojja kuleetanga akaliga ka mwaka gumu, akataliiko bbala, olw'ekitambiro ekyokye eri Omukama. Ojja kukaleetanga ku makya buli lunaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Munaawangayo omwana gw’endiga ogw’omwaka ogumu ogutaliiko kamogo okuba ekiweebwayo eri Mukama buli lunaku; ekyo munaakikolanga buli nkya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era otegekanga omwana gw'endiga ogwakamala omwaka ogumu ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama buli lunaku, ekyo kinakolebwanga buli nkya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Buli lunaku, onootegekanga endiga ento eteriiko kamogo, n'eba ekiweebwayo gye ndi Nze Mukama ekyokebwa nga kiramba. Kinaategekebwanga buli nkya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era otegekanga omwana gw'endiga ogwakamala omwaka gumu ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama buli lunaku: buli nkya ogutegekanga.