Ezekiel 46:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno akaliga n'ebitone eby'obuwunga n'omuzigo bya kuleetebwanga ku makya buli lunaku olw'ekitambiro ekyokye eky'olubeerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo omwana gw’endiga n’ekiweebwayo eky’obutta, n’amafuta binaaweebwangayo buli nkya okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe batyo bwe baba bategekanga omwana gw'endiga n'ekiweebwayo eky'obutta n'amafuta, buli nkya okuba ekiweebwayo ekyokebwa eky'olutata.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli nkya, endiga ento, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'omuzigo ogw'emizayiti, binaabanga ekiweebwayo gye ndi Nze Mukama ekyokebwa, ekyolubeerera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe batyo bwe baba bategekanga omwana gw'endiga n'ekiweebwayo eky'obutta n'amafuta; buli nkya okuba ekiweebwayo ekyokebwa eky'olutata.