Ezekiel 46:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Omulangira bw'anaabangako ky'awadde omu ku baana be ku ebyo bye yasikira, kinaabanga kya baana be; kinaabanga kyabwe eky'obusika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Omulangira bw’anaagabiranga omu ku batabani be ekirabo okuva ku by’omugabo gwe, kinaabanga busika bwa bazzukulu be; era nga bwansikirano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Omulangira bw'anaawanga ekirabo mutabani we yenna, nga bwe busika bwe, buliba bwa batabani be; butaka bwabwe olw'obusika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna, agamba nti: “Kabaka bw'anaabangako mutabani we gw'awa ekirabo eky'ettaka ku ttaka lye ly'alina, linaabanga lya baana ba mutabani we oyo ery'ensikirano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Omulangira bw'anaawanga ekirabo mutabani we yenna, nga bwe busika bwe, buliba bwa batabani be; butaka bwabwe olw'obusika.