Ezekiel 46:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bw'anaabanga aliko ky'awadde omu ku baweereza be ku by'obusika bwe, kinaabanga ky'oyo okutuusa omwaka ogw'okuteebwa, olwo ne kiryoka kiddira omulangira; batabani be bokka be basobola okwesigaliza ku by'obusika bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omulangira bw’anaddiranga ekirabo okuva ku by’omugabo gwe n’akiwa omu ku baddu be, kinaabanga kikye okutuuka ku mwaka ogw’eddembe, n’oluvannyuma kinaddizibwanga omulangira kubanga omugabo gunaabanga gugwe n’abaana be bokka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bw'anaawanga ku busika bwe omuddu we yenna ekirabo, kiriba kikye okutuuka ku mwaka ogw'eddembe; ne kiryoka kidda eri omulangira; naye obusika bwe, obwo buliba bwa batabani be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka kabaka bw'anaawanga ku ttaka lye omu ku baweereza be, ng'alimuwa ng'ekirabo, linaabanga ly'oyo gw'aliwadde okutuuka ku mwaka ogw'eddembe, ne liryoka liddira kabaka. kabaka ne batabani be, be bannyini lyo ab'olubeerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bw'anaawanga ku busika bwe omuddu we yenna ekirabo, kiriba kikye okutuuka ku mwaka ogw'eddembe; ne kiryoka kidda eri omulangira; naye obusika bwe, obwo buliba bwa batabani be.