Ezekiel 46:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulangira taatwalenga kantu ku busika bw'abantu, n'abagoba bw'atyo mu butaka bwabwe; wabula ku by'obusika bwe kw'anaawanga abaana be, wabulewo ku bantu bange aggyibwa mu butaka bwabwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulangira taatwalenga ttaka ly’abantu okubagoba mu butaka bwabwe; anaagabiranga abaana be omugabo gwabwe okuva ku butaka bwe, waleme okubaawo omuntu yenna ku bantu bange aggyibwako obutaka bwe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate omulangira tatwalanga ku busika obw'abantu okubagoba mu butaka bwabwe; anaawanga batabani be obusika ng'abuggya ku butaka bwe ye, abantu bange balemenga okusaasaana buli muntu okuva ku butaka bwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kabaka taanyigirizenga bantu n'abaggyako obutaka bwabwe. Ettaka ly'agabira batabani be, linaabanga eryo lye yaweebwa, abantu bange balemenga kusaasaana buli muntu okuva mu butaka bwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate omulangira tatwalanga ku busika obw'abantu okubagoba mu butaka bwabwe; anaawanga batabani be obusika ng'abuggya ku butaka bwe ye: abantu bange, balemenga okusaasaana buli muntu okuva ku butaka bwe.