Ezekiel 46:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja n'ampisa mu mulyango mu mbiriizi z'omulyango ogutwala mu bigango ebitukuvu ebya bakabona ebitunudde emambuka, eyo waaliyo ekifo eri ku nkingi ey'ebugwanjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omusajja n’ampisa mu mulyango ku luuyi olw’omulyango wakati w’ebisenge ebitukuvu ebya bakabona olutunuulira Obukiikakkono, n’andaga ekifo ku luuyi olusembayo Ebugwanjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'ampisa awayingirirwa ku mabbali g'omulyango n'anyingiza mu nju entukuvu eza bakabona ezaatunuulira obukiikakkono era, laba, waaliwo ekifo ku luuyi olusembayo ebugwanjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja n'antwala awayingirirwa amayumba agatunuulidde ebukiikakkono, okumpi n'omulyango ogw'obukiikaddyo bw'oluggya olwomunda. Ago ge mayumba amatukuvu aga bakabona. Ne ndaba ekifo ku ludda lw'amayumba ago olw'ebugwanjuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ampisa awayingirirwa ku mabbali g'omulyango n'anyingiza mu nju entukuvu eza bakabona ezaatunuulira obukiika obwa kkono era, laba, waaliwo ekifo ku luuyi olw'ennyuma ebugwanjuba.