Ezekiel 46:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulangira anaayingiranga okuva ebweru ng'ayita mu kisasi ky'omulyango, n'ayimirira ku mwango gw'omulyango, bakabona ne baweereza ekitambiro kye ekyokye n'ekitambiro eky'okussa ekimu. Anaavunnamanga awo ku kifugi ky'omulyango, oluvannyuma n'afuluma; gwo omulyango teguggulibwenga okutuusa akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulangira anaayingiriranga mu kisasi okuva ebweru, n’ayimirira awali omufuubeeto ogw’omulyango. Bakabona banaateekateekanga ekiweebwayo kye ekyokebwa n’ebiweebwayo bye olw’emirembe. Anaasinzizanga awayingirirwa ku mulyango; n’oluvannyuma anaafulumanga, naye oluggi teluggalwenga okutuusa akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omulangira anaayingiranga ng'afuluma mu kkubo ery'ekisasi eky'omulyango ogw'ebweru, n'ayimirira awali omufuubeeto ogw'omulyango, ne bakabona bategekenga ekikye ekiweebwayo ekyokebwa n'ebibye ebiweebwayo olw'emirembe, n'asinziza awayingirirwa ow'omulyango; kale n'afuluma, naye omulyango tebaguggalangawo okutuusa akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka anaayingiranga ng'ayita mu kasenge k'ovaamu okuyingira mu luggya olw'ebweru, n'ayimirira okumpi n'omwango gw'omulyango, bakabona ne bakola ku kiweebwayo kye ekyokebwa nga kiramba, n'ebiweebwayo by'awaayo olw'okutabagana. Anaasinzizanga awo ku mulyango n'alyoka afuluma. Naye omulyango gunaasigalanga muggule okutuusa akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omulangira anaayingiranga ng'afuluma mu kkubo ery'ekisasi eky'omulyango ogw'ebweru, n'ayimirira awali omufuubeeto ogw'omulyango, ne bakabona bategekenga ekikye ekiweebwayo ekyokebwa n'ebibye ebiweebwayo olw'emirembe, n'asinziza awayingirirwa ow'omulyango; kale n'afuluma: naye omulyango tebaguggalangawo okutuusa akawungeezi.