Ezekiel 46:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aŋŋamba nti: “Kino kye kifo bakabona we banaafumbiranga ekitambiro olw'omusango n'ekitambiro olw'ekibi, n'okusiikira ebitone eby'obuwunga baleme kubireeta mu luggya lw'ebweru batukuze abantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aŋŋamba nti, “Kino kye kifo bakabona we banaafumbiranga ekiweebwayo olw’omusango n’ekiweebwayo olw’ekibi, era gye banaafumbiranga emigaati egy’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, baleme okubifulumya mu luggya olw’ebweru okutukuza abantu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aŋŋamba nti, “Kino kye kifo bakabona we banaafumbiranga ekiweebwayo olw'omusango n'ekiweebwayo olw'ekibi, we banaayokeranga ekiweebwayo eky'obutta; baleme okubifulumya mu luggya olw'ebweru okutukuza abantu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja n'aŋŋamba nti: “Kino kye kifo bakabona we banaafumbiranga ennyama ey'ekiweebwayo ng'omutango, n'ey'ekiweebwayo olw'ekibi, era we banaasiikiranga ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, baleme kubifulumya mu luggya olw'ebweru, ne biviirako abantu akabi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aŋŋamba nti Kino kye kifo bakabona we banaafumbiranga ekiweebwayo olw'omusango n'ekiweebwayo olw'ekibi, we banaayokeranga ekiweebwayo eky'obutta; baleme okubifulumya mu luggya olw'ebweru okutukuza abantu.