Ezekiel 46:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'anfulumya n'antwala mu luggya olw'ebweru n'anneetoolooza ng'ampisa mu nsonda zonna ennya ez'oluggya; ku buli nsonda ne ndabayo oluggya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma omusajja n’antwala mu luggya olw’ebweru, n’annambuza ensonda ennya ez’oluggya, mu buli nsonda ne ndabamu oluggya olulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'anfulumya mu luggya olw'ebweru, n'ampisa ku nsonda ennya ez'oluggya; era, laba, mu buli nsonda ey'oluggya nga mulimu oluggya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'antwala mu luggya olw'ebweru, n'ampisa mu buli emu ku nsonda zaalwo ennya, ne ndaba nga buli nsonda mwalimu oluggya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'anfulumya mu luggya olw'ebweru, n'ampisa ku nsonda ennya ez'oluggya era, laba, mu buli nsonda ey'oluggya nga mulimu oluggya.