Ezekiel 46:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nsonda ennya ez'oluggya waaliyo empya emikono amakumi ana obuwanvu, n'emikono amakumi asatu obugazi; empya zonna ku nsonda z'oluggya ennya zaali za bipimo bye bimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nsonda ennya ez’oluggya mwalimu empya entonotono obuwanvu mita amakumi abiri mu emu n’obugazi mita kkumi na ttaano ne desimoolo musanvu, era nga za kigera kimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu nsonda ennya ez'oluggya mwalimu empya ezaakomerwa, obuwanvu bwazo emikono ana (40) n'obugazi asatu (30), ezo ennya ezaali mu nsonda zaali za kigera kimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Empya ezo ezaali mu nsonda ennya ez'oluggya, zaali zikomeddwa, era zonna ennya zaali zenkanankana, nga za mita amakumi abiri obuwanvu, ne mita kkumi na ttaano obugazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu nsonda ennya ez'oluggya mwalimu empya ezaakomerwa, obuwanvu bwazo emikono amakumi ana n'obugazi amakumi asatu: ezo ennya ezaali mu nsonda zaali za kigera kimu.