Ezekiel 46:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aŋŋamba nti: “Gano ge mafumbiro abo abaweereza b'omu Kiggwa ky'Omukama mwe banaafumbiranga ebitambiro by'abantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aŋŋamba nti, “Gano ge mafumbiro abaweereza gye banaafumbiranga sssaddaaka abantu ze banaawangayo mu yeekaalu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'aŋŋamba nti, “Zino ze nnyumba ez'okufumbirangamu, abaweereza ab'ennyumba we banaafumbiranga ssaddaaka ey'abantu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja n'aŋŋamba nti: “Bino bye biyungu abaweereza b'omu Ssinzizo mwe banaafumbiranga ebitambiro ebiweebwayo abantu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'aŋŋamba nti Zino ze nnyumba ez'okufumbirangamu, abaweereza ab'ennyumba we banaafumbiranga ssaddaaka ey'abantu.