Ezekiel 46:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo abantu b'omu nsi banaasinzizanga mu maaso g'Omukama awo ku muzigo gw'omulyango ku nnaku za Sabbaato ne ku lw'Okuboneka kw'Omwezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo n’abantu ab’omu nsi bateekwa okusinzizanga ku luggi olw’omulyango mu maaso ga Mukama ku Ssabbiiti ne ku myezi egyakaboneka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abantu ab'omu nsi basinzizenga ku luggi olw'omulyango ogwo mu maaso ga Mukama ku Ssabbiiti ne ku myezi egyakaboneka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli Sabbaato na buli kuboneka kwa mwezi, abantu bonna basinzizenga mu maaso ga Mukama, awo ku luggi lw'omulyango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abantu ab'omu nsi basinzizenga ku luggi olw'omulyango ogwo mu maaso ga Mukama ku ssabbiiti ne ku myezi egyakaboneka.