Ezekiel 46:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebitone omulangira by'aleeta ew'Omukama ku lwa Sabbaato binaabeeranga obuliga mukaaga n'endiga ennume emu, byonna nga tebiriiko kamogo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiweebwayo ekyokebwa omulangira ky’anaaleetanga eri Mukama ku lunaku olwa Ssabbiiti kinaabanga abaana b’endiga ennume mukaaga nga tebaliiko kamogo n’endiga ennume enkulu emu eteriiko kamogo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekiweebwayo ekyokebwa omulangira ky'anaawangayo eri Mukama kinaabanga ku lunaku olwa Ssabbiiti abaana b'endiga mukaaga abataliiko bulema n'endiga ennume eteriiko bulema;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ku Sabbaato, ekiweebwayo nga kiramba kabaka ky'anaawangayo gye ndi Nze Mukama, kinaabanga endiga ento mukaaga, n'endiga ennume emu, zonna nga teziriiko kamogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekiweebwayo ekyokebwa omulangira ky'anaawangayo eri Mukama kinaabanga ku lunaku olwa ssabbiiti abaana b'endiga mukaaga abataliiko bulema n'endiga ennume eteriiko bulema;