Ezekiel 46:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitone eky'obuwunga eky'okuleeteranga ku ndiga kinaabanga kya efa emu, ate ekitone eky'obuwunga ku buli kaliga kiryenkana nga bw'aliba asobodde, ssaako yini y'omuzigo ku buli efa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaaweebwangayo n’endiga ennume kinaabanga kilo kkumi na mukaaga, n’ekiweebwayo eky’obutta ekinaaweebwangayo n’abaana b’endiga ennume binaabanga ebirabo, awamu ne lita nnya ez’amafuta eza buli efa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ekiweebwayo eky'obutta kinaabanga efa ku ndiga ennume, n'ekiweebwayo eky'obutta ku baana b'endiga nga bw'anaayinzanga okuwa, na buli efa yini ya mafuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku buli ndiga ennume, anaaleeterangako efa emu ey'eŋŋaano, ne ku buli ndiga nto, anaaleeterangako ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ky'anaayagalanga okuwa. Buli efa ey'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, anaaleeterangako yini ey'omuzigo ogw'emizayiti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ekiweebwayo eky'obutta kinaabanga efa ku ndiga ennume, n'ekiweebwayo eky'obutta ku baana b'endiga nga bw'anaayinzanga okuwa, na buli efa yini ya mafuta.