Ezekiel 46:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olw'Okuboneka kw'Omwezi anaaleetanga ente ennume ento, obuliga mukaaga n'endiga ennume emu, zonna nga teziriiko kamogo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’omwezi ogwakaboneka anaawangayo ente ennume nga nto eteriiko kamogo, n’abaana b’endiga mukaaga n’endiga ennume nga nkulu, ebitaliiko kamogo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ku lunaku olw'omwezi ogwakaboneka kinaabanga ente envubuka eteriiko bulema; n'abaana b'endiga mukaaga n'endiga ennume; zinaabanga ezitaliiko bulema:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku mbaga ey'okuboneka kw'omwezi, kabaka anaawangayo ente ennume envubuka eteriiko kamogo, n'endiga ento mukaaga, n'endiga ennume emu, zonna nga teziriiko kamogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku lunaku olw'omwezi ogwakaboneka kinaabanga ente envubuka eteriiko bulema; n'abaana b'endiga mukaaga n'endiga ennume; zinaabanga ezitaliiko bulema: