Ezekiel 46:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anaaletanga olw'ekitone eky'obuwunga efa emu ku buli nte nnume, efa emu ku buli ndiga, ate ku buli kaliga anaaleetanga obuwunga obwenkana nga bw'aliba asobodde, ssaako ne yini y'omuzigo ku buli efa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke kilo kkumi na mukaaga ku lw’ente ennume, n’eky’emmere ey’empeke n’endiga ennume emu, n’abaana b’endiga nga bye birabo, awamu ne lita nnya ez’amafuta eza buli efa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ategekenga ekiweebwayo eky'obutta, efa ku nte, ne efa ku ndiga ennume, ne ku baana b'endiga nga bw'anaayinzanga, na buli efa yini ya mafuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku buli nte ne ku buli ndiga ennume, anaaleeterangako efa emu ey'eŋŋaano. Ku buli ndiga ento, anaaleeterangako ky'anayagalanga. Anaaawangayo yini y'omuzigo gw'emizayiti ku buli efa y'eŋŋaano gy'awaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ategekenga ekiweebwayo eky'obutta, efa ku nte, ne efa ku ndiga ennume, ne ku baana b'endiga nga bw'anaayinzanga, na buli efa yini ya mafuta.