Ezekiel 46:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omulangira bw'anaabanga ayingira, anaayitiranga mu kisasi ky'omulyango ogw'emiryango, era mw'anaafulumiranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omulangira bw’anaayingiranga, anaayitanga mu kisasi ky’omulyango, era mu kkubo lye limu eryo mw’anaafulumiranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omulangira bw'anaayingiranga, anaayingiranga ng'afuluma mu kkubo ery'ekisasi eky'omulyango, era anaafulumanga ng'ayita mu kkubo omwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka anaayingiranga ng'ayita mu kasenge k'ovaamu okuyingira mu luggya, era omwo mw'anaayitanga ng'afuluma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omulangira bw'anaayingiranga, anaalingiranga ng'afuluma mu kkubo ery'ekisasi eky'omulyango, era anaavangamu ng'afuluma mu kkubo omwo.