Ezekiel 46:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate abantu b'omu nsi bwe banajjanga mu maaso g'Omukama ku mbaga enkulu eziragiddwa, abayingirira mu mulyango gw'emambuka okusinza banaafulumiranga mu gw'emaserengeta, ate abayingirira mu gw'emaserengeta, banaafulumiranga mu gw'emambuka; tewaabenga addirayo mu mulyango mwe yayingiridde, wabula buli omu wa kufulumiranga mu mulyango ogumutunuddemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Abantu ab’omu nsi bwe banajjanga mu maaso ga Mukama ku mbaga ezaalagirwa, buli anaayingiranga mu mulyango ogw’Obukiikakkono okusinza, anaafulumiranga mu mulyango ogw’Obukiikaddyo; ne buli anaayingiriranga mu mulyango ogw’Obukiikaddyo anaafulumiranga mu mulyango ogw’Obukiikakkono; tewaabenga muntu addirayo mu kkubo ery’omulyango mwe yayingiridde, naye anaayitangamu buyisi n’aggukira ku luuyi olwolekera lwe yayingiriddeko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye abantu ab'omu nsi bwe banajjanga mu maaso ga Mukama mu mbaga ezaalagirwa, oyo anaayingiranga ng'ayita mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiikkakkono okusinza anaavangamu ng'afuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiikaddyo, n'oyo anaayingiranga ng'ayita mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiikaddyo anaavangamu ng'ayita mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiikakkono, taddirangayo mu kkubo ery'omulyango mwe yayingirira, naye avengamu nga yeesimbye mu maaso ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye abantu bwe banajjanga okunsinza Nze Mukama ku mbaga ezaalagirwa, abo abayingirira mu mulyango ogw'omu bukiikakkono, bwe banaamalanga okusinza, banaafulumiranga mu mulyango gwa mu bukiikaddyo. N'abo abanaayingiriranga mu mulyango ogw'omu bukiikaddyo, banaafulumiranga mu mulyango gwa mu bukiikakkono. Tewaabenga afulumira mu mulyango gwe yayingiriddemu, wabula mu ogwo ogugwolekedde mu maaso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abantu ab'omu nsi bwe banajjanga mu maaso ga Mukama mu mbaga ezaalagirwa, oyo anaayingiranga ng'afuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiika obwa kkono okusinza anaavangamu ng'afuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiika obwa ddyo; n'oyo anaayingiranga ng'afuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiika obwa ddyo anaavangamu ng'afuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiika obwa kkono: taddirangayo mu kkubo ery'omulyango mwe yayingirira, naye avengamu nga yeesimbye mu maaso ge.