Ezekiel 47:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja n'ankomyawo ku mulyango gw'Ekiggwa, ne ndaba amazzi nga gava wansi w'omwango gw'Ekiggwa nga gadda ebuvanjuba kubanga Ekiggwa kyali kitunudde buvanjuba. Amazzi gaakulukutanga nga gava wansi w'oluuyi olw'emaserengeta olw'Ekiggwa ku luuyi olw'emaserengeta olw'omwaliiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omusajja n’ankomyawo ku mulyango ogwa yeekaalu, ne ndaba amazzi nga gava wansi w’omulyango gwa yeekaalu ku luuyi olw’ebuvanjuba kubanga yeekaalu yali etunudde ku luuyi olw’ebuvanjuba. Amazzi gaali gakulukuta nga gava wansi ku luuyi olwa ddyo olwa yeekaalu, ku luuyi olw’Obukiikaddyo obw’ekyoto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'anzizaayo ku luggi lwa Yeekaalu ne ndaba amazzi nga gava wansi w'omulyango gwa Yeekaalu ebuvanjuba, kubanga obwenyi bwa Yeekaalu bwali bwolekera ebuvanjuba, amazzi ne gaserengeta nga gava wansi ku luuyi olw'ennyumba olwa ddyo ku luuyi olw'ekyoto olw'obukiikaddyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja n'anzizaayo ku luggi lw'Essinzizo. Ne ndaba amazzi nga gava wansi w'omulyango gw'Essinzizo, ne gakulukuta nga galaga ebuvanjuba Essinzizo gye lyali litunudde. Amazzi ne gaserengeta nga gava wansi ku ludda olwa ddyo olw'Essinzizo, ne gayita ku ludda lwa alutaari olw'ebukiikaddyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'anzizaayo ku luggi olw'ennyumba; kale, laba, amazzi gaasibuka nga gava wansi w'omulyango ogw'ennyumba ebuvanjuba, kubanga obwenyi bw'ennyumba bwayolekera obuvanjuba: amazzi ne gaserengeta nga gava wansi ku luuyi olw'ennyumba olwa ddyo ku luuyi olw'ekyoto olw'obukiika obwa ddyo.