Ezekiel 47:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abavubi baliyimiriranga ku lubalama; okuva e Engedi okutuuka e Eni-Egulayimu waliba ekifo aw'okwanika obutimba. Ebika by'ebyennyanja biriba kye kimu n'eby'omu Nnyanja Ennene, biriba bingi nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abavubi banaayimiriranga ku lubalama lwagwo okuva mu Engedi okutuuka e Negalayimu; walibeerayo ebifo ebyokwanikamu obutimba. Buli byannyanja biriba mu bika byabyo, era nga bingi nnyo nnyini ng’ebyennyanja eby’omu Nnyanja Ennene, ye Meditereeniya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka abavubi baliyimirira ku lubalama lwagwo okuva e Engedi okutuuka e Negulayimu, era walibeerayo ekifo eky'okusuuliramu emigonjo; eby'ennyanja byabwe biriba ng'engeri zaabyo bwe biriba, okwenkana ebyennyanja ebiri mu nnyanja ennene, bingi nnyo nnyini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abavubi baliyimirira ku mabbali gaagwo. Okuva mu Engedi okutuuka e Negulayimu, era walibaawo ekifo eky'okutegamu obutimba. Walibaayo ebyennyanja bingi ebya buli ngeri, nga bwe biri mu Nnyanja Eyaawakati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka abavubi baliyimirira ku mabbali gaagwo: okuva e Engedi okutuuka e Negulayimu waliba ekifo eky'okusuuliramu emigonjo; eby'ennyanja byabwe biriba ng'engeri zaabyo bwe biriba, okwenkana ebyennyanja ebiri mu nnyanja ennene, bingi nnyo nnyini.