Ezekiel 47:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli kika kya muti gwa bibala gulimera ku mbalama zombi ez'omugga. Ebikoola byagyo tebiriwotoka, n'ebibala byagyo tebiggwengako; buli mwezi gijja kubalanga kubanga amazzi gaagyo gakulukuta nga gava mu Kitukuvu. Ebibala byagwo biriba mmere n'ebikoola byagwo biriba ddagala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emiti egy’ebibala ebya buli kika girimera eruuyi n’eruuyi w’omugga, n’ebikoola byagyo tebiriwotoka era tegiibulengako bibala. Buli mwezi ginaabeerangako ebibala, kubanga amazzi gaagyo agava mu Watukuvu gagifukirira. Ebibala byagyo biriba mmere, n’ebikoola byagyo biriba ddagala eriwonya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ku mugga ku lubalama lwagwo eruuyi n'eruuyi kulimera buli muti ogubaako emmere ogutaliwotoka malagala gaagwo, so n'ebibala byagwo tebiriggwaawo, gulibala ebibala biggya buli mwezi kubanga amazzi gaagwo gava mu watukuvu, n'ebibala byagwo biriba mmere, n'amalagala gaagwo galiba ga ddagala kuwonya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lubalama lw'omugga ogwo, erudda n'erudda kulimerako buli muti ogwa buli ngeri, ogubalako ebibala ebiriibwa. Emiti egyo tegiiwotokenga makoola, era tegiirekengayo kubala bibala. Buli mwezi ginaabalanga ebibala ebiggya, kubanga amazzi agagiriisa gava mu Kifo Ekitukuvu. Ebibala byagyo biriba mmere, n'amakoola gaagyo galiba ddagala eriwonya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ku mugga ku lubalama lwagwo eruuyi n'eruuyi kulimera buli muti ogubaako emmere ogutaliwotoka malagala gaagwo, so n'ebibala byagwo tebiriggwaawo: gulibala ebibala biggya buli mwezi kubanga amazzi gaagwo gava mu watukuvu: n'ebibala byagwo biriba mmere, n'amalagala gaagwo galiba ga ddagala kuwonya.