Ezekiel 47:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda kino ky'agamba: “Zino ze nsalo ze munaagoberera okugabanyaamu ensi okuwa obusika ebika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli; ye Yozefu anaafuna ebitundu bibiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Bwe muti bwe munaasala ensalo nga mugabanya ensi mu bika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri, ng’ekika kya Yusufu kiweebwa emigabo ebiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Eno ye eriba ensalo gye muligabanirako ensi okuba obusika ng'ebika ekkumi n'ebibiri (12) ebya Isiraeri bwe biri, ne kika kya Yusufu kiriweebwa emigabo ebiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama Afugabyonna n'agamba nti: “Zino ze nsalo z'ensi gye muligabanyizaamu Ebika Ekkumi n'Ebibiri ebya Yisirayeli, ng'Ekika kya Yosefu kifuna emigabo ebiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Eno ye eriba ensalo gye muligabanirako ensi okuba obusika ng'ebika ekkumi n'ebibiri ebya Isiraeri bwe biri: Yusufu aliba n'emigabo.