Ezekiel 47:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mujja kugibagabanyizaamu kyenkanyi. Nalayira okugiwa bajjajjammwe, ensi eno ejja kubeera busika bwammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muligibagabanyizaamu mu bwenkanya, kubanga nagirayirira bajjajjammwe, era ettaka liriba mugabo gwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe muligigabana kyenkanyi, ensi gye nnalayirira bajjajjammwe okugibawa okuba obusika bwabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nneerayirira okuwa ensi eno bajjajjammwe, kale mugigabananga kyenkanyi, ebe obutaka bwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nammwe muligisika buli muntu nga munne: gye nnayimusiza omukono gwange okugiwa bajjajjammwe: era ensi eno eribagwira okuba obusika.