Ezekiel 47:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zino ze nsalo zaayo: “Ku ludda olw'emambuka ensalo zijja kuva ku Nnyanja Ennene ziyitire ku kkubo ly'e Ketuloni ziyite e Lebo-Kamati zidde e Zedadi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ensalo z’ensi eyo ziriba bwe ziti: “Ku luuyi olw’Obukiikakkono, eriva ku Nnyanja Ennene ku mabbali g’ekkubo ery’e Kesulooni okutuuka awayingirirwa e Kamasi, ng’ogenda e Zedadi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era eno ye eriba ensalo y'ensi: ku luuyi olw'obukiikakkono okuva ku mabbali g'ekkubo ery'e Kesulooni okutuuka awayingirirwa e Zedadi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Zino ze ziriba ensalo z'ensi eyo: ensalo ey'omu bukiikakkono eriva ku Nnyanja Ennene, n'ekwata ekkubo ery'e Hetulooni, n'etuuka awayingirirwa e Zedadi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era eno ye eriba ensalo y'ensi: ku luuyi olw'obukiika obwa kkono okuva ku mabbali g'ekkubo ery'e Kesulooni okutuuka awayingirirwa e Zedadi;