Ezekiel 47:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Berota, Siburayimu ekiri wakati wa Damasiko ne Kamati, okutuukira ddala ku Kazeri-Attikoni ekiriraanye ensalo ya Kawurani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Berosa, Sibulayimu ekiri ku nsalo wakati w’e Ddamasiko n’e Kamasi, okutuukira ddala e Kazerukattikoni ekiri ku nsalo y’e Kawulaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kamasi, Berosa, Sibulayimu ekiri wakati w'ensalo y'e Ddamasiko n'ensalo y'e Kamasi; Kazerukattikoni ekiri ku nsalo y'e Kawulaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eriyitira Hamati, n'etuuka e Berota, n'e Siburayimu ekiri wakati w'ensalo eyawula obwakabaka bwa Damasiko n'obwa Hamati, n'egenda e Hazarittatikoni, ekiri ku nsalo ya Hawuraani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kamasi, Berosa, Sibulayimu ekiri wakati w'ensalo y'e Ddamasiko n'ensalo y'e Kamasi; Kazerukattikoni ekiri ku nsalo y'e Kawulaani.