Ezekiel 47:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensalo ziriva ku nnyanja okutuuka ku Kazari-Enani ekiri ku nsalo za Damasiko ez'emambuka ng'ensalo za Kamati ziri emambuka. Ezo ze nsalo ez'emambuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ensalo eriva ku nnyanja okutuuka e Kazalenooni ekiri ku nsalo y’e Ddamasiko ey’Obukiikakkono, okuliraana Kamasi mu Bukiikakkono. Era eyo y’eriba ensalo ey’Obukiikakkono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ensalo eva ku nnyanja eriba Kazalenooni awali ensalo y'e Ddamasiko, ne ku luuyi olw'obukiikakkono ye eri ensalo y'e Kamasi. Olwo lwe luuyi olw'obukiikakkono.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ensalo ey'omu bukiikakkono, eriva ku Nnyanja Eyaawakati, n'ejja e Hazari Enoni ku ludda lw'ebuvanjuba, ku nsalo ne Damasiko, n'e Hamati ku ludda olw'ebukiikakkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ensalo eva ku nnyanja eriba Kazalenooni awali ensalo y'e Ddamasiko, ne ku luuyi olw'obukiika obwa kkono obukiika obwa kkono ye eri ensalo y'e Kamasi. Olwo lwe luuyi olw'obukiika obwa kkono.