Ezekiel 47:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Oludda olw'ebuvanjuba ensalo zigobera wakati wa Kawurani ne Damasiko, ne zigoba Yorudani mu makkati ga Gileyaadi n'ensi ya Yisirayeli, ne zituuka ku nnyanja ey'ebuvanjuba okutuukira ddala e Tamari; ezo ze nsalo ez'ebuvanjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku luuyi olw’ebuvanjuba ensalo eriva e Kazalenooni ekiri wakati wa Kawulaani ne Ddamasiko ku lubalama lwa Yoludaani wakati wa Gireyaadi n’ensi ya Isirayiri era n’okutuuka ku nnyanja ey’Ebuvanjuba. Eyo y’eriba ensalo ey’Ebuvanjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“N'oluuyi olw'ebuvanjuba wakati w'e Kawulaani ne Ddamasiko ne Gireyaadi n'ensi ya Isiraeri luliba Yoludaani; muligera okuva ku nsalo ey'obukiikakkono okutuuka ku nnyanja ey'ebuvanjuba. Olwo lwe luuyi olw'ebuvanjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ensalo ey'omu buvanjuba okudda mu bukiikaddyo, eriva wakati wa Hawuraani ne Damasiko, n'ejja n'Omugga Yorudaani ogwawula Gileyaadi n'ensi ya Yisirayeli. Mulipima okuva ku nsalo ey'omu bukiikakkono, okutuuka ku Nnyanja Enfu mu buvanjuba, eyo n'eba ensalo ey'ebuvanjuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'oluuyi olw'ebuvanjuba wakati w’e Kawulaani ne Ddamasiko ne Gireyaadi n'ensi ya Isiraeri luliba Yoludaani; muligera okuva ku nsalo ey'obukiika obwa kkono okutuuka ku nnyanja ey'ebuvanjuba. Olwo lwe luuyi olw'ebuvanjuba.