Ezekiel 47:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'anfulumya ng'ampisa mu mulyango ogw'emambuka, n'aneetoolooza ebweru okutuukira ddala ku mulyango ogw'ebweru ogutunudde ebuvanjuba; awo amazzi gaali gafulumira ku luuyi olw'emaserengeta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’anfulumiza mu mulyango gw’Obukiikakkono, n’ankulembera n’anneetoolooza ebweru eri oluggi olw’ebweru olutunuulidde Ebuvanjuba, era laba amazzi gaali gakulukuta okuva ku luuyi olw’Obukiikaddyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'anfulumiza mu kkubo ery'omulyango obukiikakkono, n'antwala n'anneetoolooza mu kkubo ery'ebweru okutuuka ku mulyango ogw'ebweru mu kkubo ery'omulyango ogutunuulira ebuvanjuba, laba amazzi gaali gakulukuta okuva ku luuyi olwa ddyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja n'anfulumiza mu mulyango ogw'omu bukiikakkono, n'antwala n'anneetoolooza okutuuka ku mulyango ogutunudde ebuvanjuba. Ne ndaba amazzi nga gakulukutira ku ludda olwa ddyo olw'omulyango ogwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'anfulumiza mu kkubo ery'omulyango obukiika obwa kkono, n'antwala n'anneetoolooza mu kkubo ery'ebweru okutuuka ku mulyango ogw'ebweru mu kkubo ery'omulyango ogutunuulira ebuvanjuba; era, laba, amazzi nga gakulukutira ku luuyi olwa ddyo.