Ezekiel 47:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mugigabanyeemu ng'obusika bwammwe n'obw'abagwira abasenze mu mmwe, abazadde n'abaana. Mubabalanga nga bannansi mu Yisirayeli; banaagabananga wamu nammwe ku busika mu Bayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muligigabana ng’omugabo wakati wammwe ne bannaggwanga abali nammwe, abazaalidde abaana mu mmwe. Mulibatwala ng’abazaaliranwa ba Isirayiri, era baligabana omugabo mu bika bya Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka muligigabana n'obululu okuba obusika gye muli n'eri bannamawanga abaabeera mu mmwe abalizaala abaana mu mmwe; kale baliba gye muli ng'enzaalwa mu baana ba Isiraeri; baliba n'obusika wamu nammwe mu bika bya Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muligigabana nga mukuba kalulu, n'eba yammwe ya nsikirano. N'abagwira ababeera mu mmwe, era abazaalidde mu mmwe abaana, nabo balifuna omugabo ogwabwe nga mugigabana mu Bika bya Yisirayeli. Balibalibwa nga bazaaliranwa abajjuvu mu Bayisirayeli era baligabanira wamu nammwe mu Bika bya Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka muligigabana n'obululu okuba obusika gye muli n'eri bannaggwanga abaabeera mu mmwe abalizaala abaana mu mmwe; kale baliba gye muli ng'enzaalwa mu baana ba Isiraeri; baliba n'obusika wamu nammwe mu bika bya Isiraeri.