Ezekiel 47:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kika yonna omugwira gy'aliba asenze, eyo gye mumuweeranga obusika bwe, Omukama Katonda y'agamba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era mu buli kika munnaggwanga mw’anaabeeranga, eyo gye mulimuwa omugabo gwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka mu buli kika munnaggwanga mw'anaabeeranga eyo gye mulimuwa obusika bwe, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Kika omugwira mw'alibeera, mwe mulimuweera ettaka ery'ensikirano. Nze Mukama Afugabyonna, bwe ntyo bwe ndagidde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka mu buli kika munnaggwanga mw'anaabeeranga eyo gye mulimuwa obusika bwe, bw'ayogera Mukama Katonda.