Ezekiel 47:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'apimayo emikono emirala lukumi, n'ansomosa amazzi; olwo gaali gakoma mu maviivi. Ate n'apimayo emikono emirala lukumi, n'ansomosa amazzi; olwo nga gakoma mu kiwato.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’apima mita endala ebikumi bina mu ataano, n’ampisa mu mazzi agaali gankoma mu maviivi. N’apima mita endala ebikumi bina mu ataano, n’ampisa mu mazzi agaali gankoma mu kiwato.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nate n'agera lukumi (1,000), n'ampisa mu mazzi, agaali gakoma mu maviivi. Nate n'agera lukumi (1,000), n'ampisa mu mazzi, agaali gakoma mu kiwato.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'addamu n'apima mita ebikumi bitaano, n'ampisa mu mazzi. Gaali nga gakoma mu maviivi. N'apima mita endala ebikumi bitaano, amazzi ne gankoma mu kiwato.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nate n'agera lukumi, n'ampisa mu mazzi, amazzi agakoma mu maviivi. Nate n'agera lukumi, n'ampisa mu mazzi, amazzi agakoma mu kiwato.