Ezekiel 47:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'apimayo emirala lukumi; kati gaali gafuuse mugga gwe saasobola kusomoka, kubanga amazzi gaali geetuumye nga ga kuwuga buwuzi, omugga oli gw'atayinza kusomoka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’apima mita endala ebikumi bina mu ataano, naye kati amazzi gaali gafuuse mugga gwe nnali sisobola kusomoka kubanga amazzi gaali gatumbidde era nga mangi agawugibwamu obuwugirwa, omugga ogwali gutasoboka kusomokebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma n'agera lukumi (1,000), naye kati amazzi gaali gafuuse mugga gwe nnali sisobola kusomoka kubanga amazzi gaali gatumbidde, era nga mangi agawugibwamu obuwugirwa, omugga ogutasomokeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ayongera n'apima mita ebikumi bitaano, ne guba mugga gwe siyinza kusomoka, kubanga amazzi gaali gatumbidde nga tegasomokeka, okuggyako okugawuga obuwuzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma n'agera lukumi; ne guba mugga gwe ssaayinza kusomoka: kubanga amazzi gaali gatumbidde, amazzi ag'okuwugirira, omugga ogutayinzika kusomokeka.