Ezekiel 47:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe natunula, ne ndaba emiti emingi ennyo wonna mu lubalama lw'omugga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe natuuka eyo, laba ne ndaba ku lubalama lw’omugga emiti mingi nnyo eruuyi n’eruuyi w’omugga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe nnali nga nzizeeyo, laba, ku lubalama lw'omugga nga kuliko emiti mingi nnyo eruuyi n'eruuyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nali nga nzirayo, ne ndaba nga ku lubalama lw'omugga, kuliko emiti mingi nnyo erudda n'erudda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe nnali nga nzizeeyo, laba, ku lubalama lw'omugga nga kuliko emiti mingi nnyo eruuyi n'eruuyi.